Jeremiah 30:15-17

15Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo,
obulumi bwo obutaliiko ddagala?
Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo
nkuleeseeko ebintu bino.

16 a“ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa,
abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse.
Abo abaakunyaga balinyagibwa,
abo abaakwelula balyelulwa.
17 bNaye ndikuzzaawo owone,
ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama,
‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa,
Sayuuni atalina n’omu amufaako.’
Copyright information for LugEEEE